Ebikozesbwa Mu Kuyiriza Mu Luganda

Ebikozesebwa bino biwa omusajja, omukazi, abafumbo oba abazadde ebitabo eby’okujjuzamu ebyesigamiziddwa ku Bayibuli okubayamba okubayigiriza okubeera mu Kristo

Obutambi Bw’okutendekebwa

Kinateera okufuluma...

Ebyokukozesa ebiri mu PDF

Ebibuuzo by'Abasumba

Ebibuuzo bino bijja kuyamba abakulembeze okwetegereza n’okupiima engeri obuweereza bwabwe gye bukolamu ku by’obayigirizwa. Eby’okuddamu mu bibuuzo bino bijja kulaga obanga okufuula abayigirizwa kye kintu ekisinga obukulu era obanga enkola n’omutendera ey’okubafuula abayigirizwa eteekeddwawo eri abakkiriza

Okuyigirizwa kitaaga okwolesebwa n'Enteekateeka

Ekiwandiiko kino kyawandiikibwa n’ekigendererwa eky’okuyamba ekkanisa y’Abakrisitaayo okutegeera obulungi ekiriwo, n’engeri y’okuyigirizaamu abaana ba Katonda ebintu
ebisinga obukulu, ebikozesebwa, n’entegeeka. Tusuubira nti obubaka buno bujja kukuyamba okussa mu nkola obuyigirizwa mu kkanisa yo.

Omusingi gw’Amazima gw'Ekikristaayo

Ekirabo ekisingayo obukulu ekiweebwa okuyitira mu bulokozi kwe kuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda nga yesigamye ku ye.Okuba omuyigirizwa y’entegeeka ya Katonda ey’okuyiga okubeera omu ne Kristo n’engeri y’okubeera mu bulamu obw’ekitiibwa. Ekitabo kino eky’okwewaayo eri Katonda kiraga amazima amakulu agali mu Baibuli agakwata ku nzikiriza y’Ekikristaayo abakkiriza bonna gye balina okuyiga. Yesu Kristo lwe lwazi lwaffe lwe tuyimiriramu naye singa omusingi gw’omuntu ogw’eby’omwoyo guba munafu, kino kijja kubakosa mu buli kimu mu bulamu bwabwe. Kino nakyo kikozesebwa nnyo eri abo abayigganyizibwa oba abayigiriza abalala.

Obufumbo Buweereza

Ebitabo bino ebiri mu bitundu 5 bisima ebigendererwa bya Katonda eby’obufumbo, biraga bulungi obuvunaanyizibwa bw’omwami n’omukyala, okunoonyereza ku mikisa Katonda gy’ayagala mu bufumbo, n’okuwa ebyokulabirako eby’enjawulo ku ngeri abafumbo gye baweerezaamu bannaabwe. Ebitundu bino bikola bulungi nnyo eri abafumbo abapya, okunyweza obufumbo obwali bumaze okuba obw’amaanyi, eky’okubuulirira, okuyigiriza abalala oba ebibiina ebitono.

Okukuza abaana buweereza

Ebitundu bino eby’ebitabo 4 bisima mu buvunaanyizibwa bw’abazadde Katonda bwe yabawa okwagala, okulabirira n’okutendeka abaana mu ngeri gye balina okutambulamu. Kijja kuyamba abazadde abayinza okuba nga tebaalina byakulabirako Birungi era biwa emisingi gya Baibuli n’amazima agasobola okutuyamba okutegeera katonda by’ayagala n’ekigendererwa kye mu kukuza abaana. Ebitundu bino biwa enteekateeka ey’okukuza abaana ne bafuuka abantu abakulu.

Okusonyiwa n'Okutabagana

Ekitabo eky’empapula 14 ez’okujjuzamu kiraga emisingi gya Baibuli egikwata ku kusonyiwa n’emitendera egy’okutabaganya enkolagana eyamenyese. Kikulu nnyo okwesomesa oba okubuulirira.